To provide the best experiences, we use technologies like cookies to store and/or access device information. Consenting to these technologies will allow us to process data such as browsing behavior or unique IDs on this site. Not consenting or withdrawing consent, may adversely affect certain features and functions.
The technical storage or access is strictly necessary for the legitimate purpose of enabling the use of a specific service explicitly requested by the subscriber or user, or for the sole purpose of carrying out the transmission of a communication over an electronic communications network.
The technical storage or access is necessary for the legitimate purpose of storing preferences that are not requested by the subscriber or user.
The technical storage or access that is used exclusively for statistical purposes.
The technical storage or access that is used exclusively for anonymous statistical purposes. Without a subpoena, voluntary compliance on the part of your Internet Service Provider, or additional records from a third party, information stored or retrieved for this purpose alone cannot usually be used to identify you.
The technical storage or access is required to create user profiles to send advertising, or to track the user on a website or across several websites for similar marketing purposes.
Mu lupapula luno, OBUWAKATIRWA, obwogerwako mu Lungereza nga verb extensions. Obuwakatirwa, era ng’ekigambo bwekiri, bwe butundutundu bw’ebigambo obwongerwa ku komerero y’ebikolwa okugaziya amakulu gaakyo.
Buli kawakatirwa akayungibwa ku kikolo ky’ekikolwa kalina amakulu ag’enjawulo ge kawa. Mu Luganda tulina obuwakatirwa mwenda (9) era tugenda kubwogerako wammanga kamu ku kamu.
Akawakatirwa akalazi
Bwe tuba tuwandiika akawakatirwa kano ku kikolwa tuyungako akatundu ku nkomerero y’ekigambo era akatundu ke tuyungako kali -era oba -ira, nga ke kakola ng’akawakatirwa akalazi.
Eby’okulabirako:
Amakulu g’akawakatirwa akalazi
Eby’okulabirako:
Eby’okulabirako:
Amateeka agafuga ennyunga y’akawakatirwa akalazi Gali abiri: 1. Singa empeerezi y’ennyingo esooka ku kikolo eba a, i oba u, akawakatirwa akayungibwako kalina kuba -ira. 2. Singa empeerezi y’ennyingo esooksa ku kikolo eba o, e, akawakatirwa akayungibwako kalina kuba -era.
Akawakatirwa akalazi akaddiŋŋana
Bwetuba tuwandiika ekikolwa ekirimu akawakatirwa kano, ku kikolo tuyungako -erera oba –irira. Eby’okulabirako:
Amakulu g’akawakatirwa akalazi akaddiŋŋana
Ng’erinnya ly’akawakatirwa bwe tulirabye nti lwa kuddingana era n’amakulu agasooka gali nti kaba kalaga okudding’ana ekikolwa gamba nga kaabirira, temerera n’ebirala, era nga kinokiba kitegeeza nti omuntu ekikolwa akikola buli kiseera.
Amateeka agafuga empandiika y’akawakatirwa akaddingana:
Akawakatirwa ka kanaaluzaala
Buli lwe tuwandiika ekikolwa ekirimu akawakatirwa ka kanaaluzaala, ku kikolo tuyungako enyingo zino; -za, -sa, -isa, -esa ne –ya.
Eby’okulabirako:
Amakulu ga kanaaluzaala
Kanaaluzaala bw’ekozesebwa mu kikolwa esobola okuwa amakulu ga mirundi esatu’, okugeza: Amakulu agasooka gayinza okulaga omuntu aleetera ekikolwa ekyo okukolebwa era y’ensonga lwaki tukayita kanaaluzaala. Eby’okulabirako
Eby’okulabirako
iii) Kaba kalaga ensonga lwaki ekikolwa kikolebwa, okugea:
Amateeka agafuga empandiika y’akawakatirwa kano. 1. Ekikolwa bwe kiba nga kisembyayo ennyingo –ra oba –ja ne –ga, ennyingo ezo tuyinza okuziggyawo ne tuteekawo ennyingo-za eraga akawakatirwa kanaaluzaala. Eby’okulabirako: -ra, -ja, -ga =(za)
Ekikolwa Kanaaluzaala Laga Laza Londa Lonza Twala Twaza Bajja Bazze Beera Beeza
Akawakatirwa akasoboka
Akawakatirwa kano tukawandiika nga tulaga nti ekikolwa kisoboka okukolebwa oyo aba ayagala okukikola. Bwe tuba tuwandiika akawakatirwa kano ku nkomerero y’ekigambo tuteekayo ennyingo zino; -ika, -eka, -ezeka oba –izika.
Eby’okulabirako Ekikolwa Akawakatirwa akasoboka Kola Koleka Sala Salika Kuma Kumika Beera Beereka Toola Tooleka Wola Woleka Soma Someka
Eby’okulabirako mu mboozi
Weetegereze: ate singa tuba tukozesa akawakatirwa akasoboka ak’ennyingo –izika ne –ezeka ku kikolo ky’ekikolwa tukayungako bwe tuti: Ekikolwa Akasoboka (-izika ne –ezeka) Wonya Wonyezeka Nyumya Nyumizika Noonya Noonyezeka
Eby’okulabirako:
Amateeka agafuga enkozesa y’akawakatirwa akasoboka. Bwe tuba tuyunga akawakatirwa akasoboka ku kikolwa ennukuta esemba ku kikolo tusooka kugiggyawo ne tulyoka tuyungako akawakatirwa. Eby’okulabirako: Som(a) = eka – someka
Amateeka g’akawakatirwa akasoboka
Akawakatirwa kyesirikidde
Bulijjo bwe tuba twagala okuwandiika sentensi naye nga essira tuliteeka ku kikolwa, sentensi eyo, tugiteeka mu kyesirikidde passive form. Wabula ekitundu ekikyuka kiba kikolwa. Ekikolwa tukiteeka mu kyesirikidde nga tuggyawo ennukuta eya “a” esemba ku kikolwa olwo ne tuyungako ennyingo zino; -ibwa, -ebwa, -ibbwa, -iddwa, -wa, -ebbwa.
Eby’okulabirako: Ekikolwa Kyesirikidde Sala Salibwa/salwa Lima Limibwa/ limwa Soma Somebwa/ somwa Loopa Loopebwa/loopwa Samba Simbibwa /simbwa Siba Sibibwa/sibwa
Eby’okulabirako
Amateeka agafuga empandiika ya kyesirikidde
Bulijjo ennyingo esemba ku kikolwa bw’eba n’empeerezi a, i oba u tuyungako akawakatirwa –ibwa, wabula ebiseera ebisinga ebigambo ebirina ensirifu ebbiri naye nga birina empeerezi emu “nnannyingo emu” bitera kuyungibwako kawakatirwa “-ibwa”. Eby’okulabirako Ekikolwa Kyesirikidde Bba bbibwa Ggya Ggyibwa Tta Ttibwa
Naye ate Nnannyingo emu bw’eba n’ensirifu emu ebiseera ebisinga eba n’akawakatirwa “-ebwa” Okugeza; Wa—-weebwa Ta—–teebwa Sa—–seebwa
Weetegereze:
Singa kyesirikidde eba ewandiikibwa mu kiseera ekyayise naye nga tekiussa ssaawa abiri mu nnya (24) emabega ekikolwa ekiba kiwandiikibwa tukiyungako –eddwa, -bbwa oba –ebbwa.
Eby’okulabirako:
Ekikolwa Kyesirikidde Kola Koleddwa/kolebwa Simba Simbiddwa/simbibwa Teeka Teekeddwa/teekebwa Manya Manyiddwa/manyibwa Saba Sabiddwa/sabibwa
Ekibuuzo: Wandiika sentensi ttaano nga zirimu Nnakamwantette ozizze mu kyesirikidde. Nnakamwantette Kyesirikidde Abaana basoma bitabo Bisomebwa Omusajja atemye omuti gutemeddwa Musoke alonze ensimbi zirondeddwa Basiimuula nnyumba esiimuulibwa Asamba mupiira gusambibwa.
Akawakatirwa akajjuluzi/akaddannyuma
Akawakatirwa akajjuluzi kakozesebwa nga kalaga ekikolwa ekikoleddwa kyetaaga okujjulula kidde nga bwekibadde nga tekinnakolebwa.
Ekikolwa ekirimu akawakatirwa akajjuluzi ku nkomerero yaakyo kayungibwako ennyingo –ulula, -ula, oba –ukuka, era bwe tuba tuyunga ku kikolwa akamu ku buwakatirwa obwo ennukuta “a” esemba ku kikolwa eggyibwawo olwo ne tulyoka tuyungako akawakatirwa.
Eby’okulabirako: Ekikolwa Akawawakatirwa akajjuluzi Samba Simbula/simbulula Timba Timbula/timbulula Ggala Ggula Wandiika wanduukulula Vvuunika Vvuunula
Eby’okulabirako
Weetegereze
Waliwo ebigambo aboogezi n’abawandiisi bye bakozesa mu bukyamu nga bataddeko akawakatirwa akajjuluzi nga bitegeeza ekintu kirala nnyo gamba nga: Ddaabiriza ddaabulula Tamiira tamiirukuka Nyaga nyagulula
Ebigambo ebyo bisaana okwegendereza.
Wabula waliwo ebikolwa ebirala ebikyuka nga twetaaga kifuulannenge waabyo “opposite” olwo nno ne bikola akawakatirwa akajjuluzi. Eby’okulabirako Siba sumulula Tugga taggulula Saaniika jjula.
Akawakatirwa akaddiŋŋana
Ng’erinnya bwe lyogera, akawakatirwa kano kalaga okudding’ana kw’ekikolwa. Mu mboozi ekikolwa kye nnyini kye tuddamu okuwandiika. Eby’okulabirako: Ekikolwa Akawakatirwa akadding’ana Tema tematema Soma Somasoma Kuba Kubakuba Vuma vumavuma Siba Sibasiba
Ebyokulabirako mu mboozi
Amakulu g’akawakatirwa kano ng’oggyeeko ag’okudding’ana ekikolwa gali nti, omuntuakola ekikolwa ekyo amala geekolers era tekinyirira bulungi.
Akawakatirwa akakolaganyi
Akawakatirwa kano kawandiikibwa okulaga nti waliwo liiso ku liiso wakati w’abantu babiri oba abasukka ababiri nga buli omu akola munne ekintu kye kimu. Buli lwe tuba tuwandiika ekikolwa ekirimu okukolagana ku kikolwa tuyungako akawakatirwa -ŋŋana oba –gana ku nkomerero yaakyo.
Eby’okulabirako Ekikolwa Akawakatirwa akaddiŋŋana Tta ttiŋŋana Bba bbiŋŋana Tya tyaŋŋana Dda ddiŋŋana
Weetegereze Ebikolwa byonna ebirina ennyingo emu “monosyllable” tubiyungako akawakatirwa –gana. Okugeza; Ekikolwa Akawakatirwa akakolaganyi Kyawa kyawagana Siba Sibagana Tema Temagana Kuba Kubagana
Wabula ebikolwa ebirina ennyingo esukka mu emu naye nga bisembyayo ennyingo “ga” ebyo byo tubiyungako akawakatirwa -ŋŋana.
Eby’okulabirako Laga lagaŋŋana Loga logaŋŋana
Akawakatirwa akeekolako
Akawakatirwa kano kakyuka ku bulala kubanga ko kayungibwa mu kikolw amunda ate era kalagibwa na nnukuta mpeerezi “ee”. Buli lwe kawaniikibwa kaba kalaga nti ekikolwa omuntub akikola akyekolako ye kennyini.
Wabula nolumu akawakatirwa kano mu mpandiika kayinza obutalaga nnukuta ezo zombie empeerezi bnaye era munda mu njatula zibaamunaye olw’amateeka agafuga empandiika y’Oluganda entongole ennukuta emu evaawo.
Bino wammanga bye bimu ku bigambo ebirimu akawakatirwa akeekolako:
Wabula ebigambo ebirala bisobola okubaamu akawakatirwa kano “akeekolako” naye nga empeerezi ebbiri tezikozeseddwa ne tukozesa empeerezi emu nga bino;