• LOGIN
  • No products in the cart.

LGA1/5 EMBU Z’EBIGAMBO

Unit eno ennyonnyola buli kimu ekikwata ku mbu z'ebigambo

LGA1/5 EMBU Z’EBIGAMBO

Olubu tusobola okukiyita oluse omugwa omuntu, ekintu oba ekifo. Mu Luganda tulina ebigambo eby’enjawulo era ng’ebigambo bino kinnakimu birina embu mwe bigwa. Tulina embu z’ebigambo mwenda omugwa ebigambo by’Oluganda byonna era nga ze zino wammanga:

  1. Erinnya
  2. Nakongezalinnya
  3. Ekikolwa
  4. Nakongezakikolwa
  5. Nakataba
  6. Nakasiba
  7. Nakasigirwa
  8. Ssenfo
  9. Obwewuunyi

Erinnya

Ekimiimo erinnya kitegeeza ekyo ekintu kye kiyitibwa.Okufaananako n’ennimi endala, mu Luganda namwo mulimu amannya agayitibwa oba agatuumibwa abantu, ebintu oba ebifo. Amannya gano galimu ebika ebiwerako wabula nga mulimu ebika ebikulu bibiri:

  1. Amannya ag’enkalakkalira
  2. Amannya ag’olukale

Amannya ag’enkalakkalira 

Gano gabeera mannya agatuumibwa abantu, ebintu n’ebifo, nga tegakyukakyuka era nga gasigalawo nga malamba ne bwe gaba nga gateereddwa mu mbu z’amannya ez’enjawulo.

Amannya gano gaawulwamu ebiti mukaaga era nga bye bino wammanga:

  1. Ag’abantu gamba nga Mukasa, Kizito, Mugerwa n’amalala.
  2. Ag’ebibuga gamba nga Kampala, Mukono, Nairobi.
  3. Ag’ebyalo gamba nga Kaabuwoko, Nakayiba.
  4. Ag’ensozi gamba nga Buddo, Naggalabi, Ndikuttamadda, Namirembe
  5. Ag’emigga okugeza Kiyira, Katonga
  6. Ag’ennyanja okugeza Nalubaale. Muttanzige.
  7. Ag’ebifo nga muno mulimu; ag’amasomero, amalwaliro, ebisaawe n’ebifo ebisanyukirwamu gamba nga; Namboole.

N’ebika ebirala.

Weetegereze:

  1. Bulijjo bwe tuba tuwandiika amannya gano tugatandika na nnukuta nnene erinnya ne bwe liba nga liwandiikiddwa wakati mu sentensi okugeza;
  • Omwana wa Musoke ye yamulumbaganye.
  • Abaagenze e Namboole tebannadda.
  1. Era bwe tuba tuwandiika amannya gano tugawandiika gokka nga tetugagasseeko kigambo kirala kyonna ekibeera mu sentensi.

Amannya ag’olukale

Gano gabeera mannya agatwalira abantu oba ebintu awamu era nga googera ku kintu oba ebintu eby’enkalakkalira. Eby’okulabirako:

  • Omulenzi
  • Abasawo
  • Abasomesa

Weetegereze: Amannya gano tegawandiikibwa na nnukuta nnene okuggyako nga gatabdika sentensi. Eby’okulabirako:

  • Twala abawala bazannye.
  • Omusawo muntu mukulu nnyo.

Ebibinja by’amannya ebirala:

Amannya g’ebintu ebitabalika

Waliwo ebintu mu Luganda nga birina amannya naye nga tebibalika. Kwe kugamba nti omuntu tayinza kugamba nti nnina kimu oba bibiri ng’ayogera ku bintu nga: Amata, sukaali, amazzi, omunnyo, ettaka, omwenge n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo. Wabula, singa oba oyogera ku bika by’ebintu bino oyinza okulaga omuwendo gw’ebika, okugeza,

  1. a) Ebika by’omuddo bibiri, kanyeebwa n’olumbugu bye bitutawaanya ennyo munnimiro zaffe. b) Ntwalira ebika by’omwenge ebyo byombi obitunde.

Weetegereze:

Amannya gano tegawandiikwa na nnukuta nnene okuggyako nga ge gatandika sentensi.

  • Amannya ag’ebintu ebibalika (countable nouns)
  • Amannya ag’ebintu ebiyinza okubalika gagwa mu kiti kino era oluusi gatwalibwamu ag’olukale. Muno tulinamu amannya nga;
  • Entebe, emmeeza, ennyumba, edduka, empale, ekitanda n’amalala.

Amannya ag’ebibinja

Gano ge mannya agoogera ku bintu ebingi naye nga biteereddwa mu ttuluba limu agamu ku go ge gano: Eggye , eggana, ekibiina, ekinywa, omutwalo, oluwungu n’amalala.

Amannya ag’ebintu ebitakwatwako

Mu Luganda eriyo ebintu nga tubyogera lunye wabula nga tetusobola kubikwatako oba okubiraga bannaffe. Ebintu bino tubiwulira buwulizi oba tulaba abantu nga babikola oba oluusi ne tulowoozaako birowooze ebimu ku byo bye bino; Empewo, akajanja, akababba, omukwano, ettima, ekiwuubaalo, essanyu, ebbula n’amalala.

Nakongezalinnya

Abawandiisi ab’enjawulo bakozesa ennyinyonnyola ez’enjawulo okuddamu ekibuuzo: Nakongezalinnya kye ki?, wabula nga bonna bafundikira nga wadde bakozesezza ebigambo eby’enjawulo naye ng’amakulu gasigadde ge gamu. Noolwekyo ekimiimo Nakongezalinnya tusobola okukinnyonnyola nga Ekigambo ekyongera okunnyonnyola oba ekyongera amakulu ku linnya eribeera likozeseddwa mu mboozi/sentensi.

Nakongeza linnya mu mboozi ziddirira linnya lye zibeera zongerako amakulu. Okugeza;

  1. Omuwala omulungi ani amuvumye obubi?
  2. Omusajja omuwanvu amenyese.
  3. Omuti omukadde gugudde.

Waliwo Nakongezalinnya nga zirina zinnaazo bwe zikontana nga mwe muli zino wammanga:

  • -gezi-/-siru
  • -wombeefu/-lalu
  • -lungi/-bi
  • -to/-kulu/-kadde

Ebika bya Nakongezalinnya

Nakongezalinnya nakabala/ez’obutonde

Zino ze Nakongezalinnya zi kaasangwawo oba ez’obutonde ezitalina nsibuko kuva mu za bigambo birala. Okugeza:

  • -lungi
  • -gezi
  • -lalu
  • -mpi

Nakongezalinnya eziva mu bigambo ebirala

Kino kye kika kya Nakongezalinnya ezizaalukanyizibwa okuva mu bikolwa. Mu zzo mulimu zino wammanga:

  • -tamiivu (tamiira)
  • -gayaavu (gayaala)
  • -tangaavu (tangaala)
  • -limi (lima)

Nakongezalinnya Ez’ebifo

Zino ze Nakongezalinnya eziraga ekifo erinnya kye likwata. Okugeza:

  • sooka
  • wakati
  • kungulu
  • semba
  • munda
  • wamberi

Nakongezalinnya Ez’engeri/Ez’ekikula

  • -wanvu
  • -nene
  • -mugevvu

Nakongezalinnya Ez’emiwendo/obungi:

  • -ngi
  • -lwebeeya
  • -tono
  • -kiganda
  • -kafukunya
  • -kisibo
  • -keesedde
  • -kawumbi

Nakongezalinnya Ez’obukulu Zino ze Nakongezalinnya eziraga/ezinnyonnyola “obuwangaazi” bw’erinnya. Okugeza:

  • -kadde
  • -to
  • -pya
  • -zeeyi
  • -ggya
  • -vubuka

Nakongezalinnya Ez’obwannannyini

  • -affe
  • -ammwe
  • -ange
  • -abwe

Nakogezalinnya Endazi

  • -ono
  • -ezo
  • -kino
  • -ziri
  • -kiri
  • -bano

Nakongezalinnya ezibuuza

Zino ziyamba okumanya ebifa ku linnya okugeza:

  • wa?
  • ani?
  • ddi?
  • tya?
  • ki?
  • meka?

Weetegereze bino:

Singa Nakongezalinnya ekyusa ekifo mu mboozi n’amakulu gaayo gakyuka okuva ku kubeera nga eyongera amakulu ku linnya olwo n’efuuka ekintu ekirala. Okugeza: Singa Nakongezalinnya –wanvu etandika emboozi olwo eba efuuse erinnya ku bwayo nga mu mboozi eno wammanga: a) Omusajja omuwanvu tayagalika.

Omuwanvu tayagalika.

Mu mboozi ezo waggulu, emboozi esooka egamba nti omusajja nga muwanvu si mwangu kwagala, ekiraga nti –wanvu nakongezalinnya eyongera amakulu ku linnya. Wabula emboozi ey’okubiri eraga nti Muwanvu linnya lya muntu naye ng’omuntu oyo tayagalika.

b)Abawala abalungi batuuse. Abalungi ndagala nnamu.

Nakongezalinnya zisobola okubeera nga zisukka mu emu mu mboozi. Singa zibeera nga zikozeseddwa mu mboozi, zigattibwa n’obugambo obuyunzi. Okugeza ku ky’okulabirako kino wammanga:

  • Omwana omunene era omuzito omulwadde tatambulika naye ku lugendo.

Empeekera nakongezalinnya

Singa emboozi ebeeramu ebigambo ebisukka mu kimu nga byongera amakulu ku linnya eriri mu mboozi eyo, olwo ebigambo ebyo bifuuka empeekera Nakongezalinnya. Okugeza;

  • Omuyizi addamu ennyo ebibuuzoekiyitiridde asomeseka.
  • Omukazi eyabba ssente mu bbankayafa jjuuzi.
  • Abayizi aboosayosa mu biseera by’okusomabagwa nnyo ebigezo

Ebyo ebigambo ebisaziddwako waggulu bye tuyita empeekera Nakongezalinnya ate ekigambo ekimu ekibinnyonnyola kye tuyita Nakongezalinnya.

Ebikolwa

Mu Luganda ekiokolwa kye kigambo ekiraga omukozi ky’aba kola mu mboozi. Mu ngeri endala ekikolwa y’entabiro y’emboozi; kye kigambo emboozi eyo kw’etabira. Abamu kye bava ekikolwa bakiyita Nnantabira.

Ebikolwa birimu ebiti ebikulu bibiri:

  • Ebyemala
  • Ebiteemala

Ebikolwa ebyemala

Bino tubiyita ebyemala olw’ensonga nti bisobola okuyimirirawo ku lwabyo byokka butengerera ne biwa amakulu. Ebikolwa bino ebyemala era tubyawulamu ebiti bibiri era nga bye bino:

  • Ebyetaaga ekikolebwako
  • Ebiteetaaga kikolebwako
  1. a) Ebikolwa ebiteetaaga ekikolebwako bye bino nga; okwebaka, okutunula, okuseka, okufa, n’ebirala.

Omuntu bw’akola sentensi omuli ebikolwa ebyo n’ebirala ebifaanana waggulu, amakulu gatereekeka bulungi. Mu ngeri eyo obeera teweetaaga kweongerako kigambo kyonna. Okugeza, omuntu bw’agamba nti, Anna yeebase, toyinza kubuuza nti, yeebase ki?

Ebyokulabirako:

  • Omwana yeebase.
  • Maama atunula.
  • Omulenzi aseka.
  • Omubbi afudde.

Weetegereze: Mu mboozi ezo waggulu okuggyako ng’awuliriza oba omulabi ayagala kumanya ensonga lwaki ekikolwa kikolebwa olwo ayinza okubuuza.

  1. b) Ate waliwo ebikolwa ebyemala wabula nga byetaaga ekikolebwako mu mboozi. Okugeza:
  • Omwana akuba omupiira.
  • Maama asusa ebinyeebwa.
  • Omulenzi aleese ekitabo.
  • Omubbi abbye ettooke

Mu mboozi esooka omwana yakola ekikolwa “eky’okukuba”, ng’ekikolwa kino akikola ku “mupiira“.

Erinnya erikolebwako (omupiira) lye liyamba ekikolwa ekikolebwa mu mboozi eyo waggulu okumalawo okwebuuza okwandibaddewo singa omuntu agyogera/awandiise emboozi eyo abeera nga talitaddeeko. Ne mu mboozi endala bwe kityo bwe kiri.

Okugeza:

Omwana akuba (akuba ki?).

Weetegereze: Bulijjo singa emboozi ebaamu ekikolwa nga kyemala naye nga kyetaaga ekikolebwako, nakasigirwa enkozi mu mboozi ebeera a-.

Ebikolwa ebiteemala

Muno mulimu ebikolwa nga: -va -ja -beera -sooka -lyoka n’ebirala Bino tubiyita ebiteemala kubanga tebisobola kuyimirirawo butereevu ku lwabyo mu mboozi ne biwa amakulu.

Weetegereze: Ebikolwa bino okuwa amakulu tubiyunga ku nakasigirwa enkozi, tuyinza okweyambisa embu z’amannya oba tuyinza okweyambisa nakasigirwa ez’obuntu eziteemala.

Eby’okulabirako Namukasa alya muwogo.

Akayingo ako a-‘ tukayita nakasigirwa enkozi.

Newankubadde nga tugamba nti ebikolwa bya mirundi ebiri; ebyemala n’ebiteemala, naye tulinayo ebikolwa ebiyitibwa ebikolwa ebiyambi. Ebikolwa ebiyambi omulimu gw’abyo kuyamba ku bikolwa ebirala ebiba biri mu sentensi eyo eba ewandiikiddwa. Ebikolwa bino ebiyambi biyinza okukozesebwa nga bisukka mu kimu mu sentensi. Ebimu ku byo bye bino:

  • -tera
  • -va
  • -kanda
  • -lyoka
  • -sooka
  • -fa
  • -bakira
  • -ba
  • -gira

n’ebirala.

Ebikolwa ebyo tuubirabira mu mboozi nga zino wammanga:

  • Omwana atera okuzuukuka ekiro.
  • Tuva kukima mazzi kuluzzi.
  • Baakanda kulinda nga buteerere.
  • Omukyala asooka kulima mu lusukuwe.
  • Bakira tulinda nga ye yakyaludde dda.
  • Omyizi afa gawandiika.

Weetegereze:

  • Ebiseera ebisinga ekikolwa ekiyambi kitera nnyo okuddirira ekikolwa ekyo kye kiyamba mu mboozi.
  • Ebimu ku bikolwa ebiyambi oluusi biyinza okweyambisibwa ng’ebikolwa ebyemala ku lwabyo mu mboozi.

Okugeza:

  1. Maama ava mu katale.
  2. Omuyizi oyo y’asooka buli lunaku.
  3. Musoke abeera Kampala.

 

Nakongezakikolwa

Nakongezakikolwa kye kigambo ekyongera okunnyonnyola ku ekikolwa ekikolebwa/ekyongera amakulu ku kikolwa ekiri mu mboozi oba sentensi. Ekikolwa ekiri mu sentensi kisobola okwongera okunnyonnyolwa mu ngeri zino wammanga:

  1. Engeri gye kikolebwamu
  2. Embeera gye kikoleddwamu
  3. Emirundi gye kikolebwa
  4. Ekifo we kikolerwa n’engeri endala.
  5. Ekiseera mwe kikoleddwa

Mu ngeri ezo waggulu wamu n’endala ezitakooneddwako mwe muva ebika bya nnakongezakikolwa eby’enjawulo era nga mulimu bino wammanga:

Nakongezakikolwa Ez’ebiseera

Zino ziraga obudde oba ekiseera ekikolwa we kikoleddwa. Mu biseera eby’enjawulo omuyinza okukolerwamu ekikolwa mulimu bino wammanga:

  • Kawungeezi
  • Ku makya
  • Matumbi
  • Ggulolimu
  • Ttuntu
  • Nnazzikuno n’ebirala.

Okugeza:

  • Nnazzikuno omuwala okwejaajaamya nga tannafumbirwa kyabeeranga kivve.
  • Omusajja yajja mu ttuntu.
  • Taata asambula kawungeezi.
  • Twamuwulira ng’ayita eyo mu ttumbi.

Nakongekikolwa Ez’empisa

Zino ziraga engeri omuntu gye yeeyisaamu ng’akola ekikolwa. Okugeza:

  • Mpola
  • Kasoobo
  • Lulembe
  • Ssimbo
  • kyejo

Eby’okulabirako;

  • omwana oyo alya mpola.
  • Nalule atambuza ssimbo.
  • Nassiwa emmere agiwaasa lulembe.
  • Omuggalanda abeera n’ekyejo.

Nakongezakikolwa Ez’ebifo

Zino ziraga wa ekikolwa we kikolerwa. Okugeza:

  • Waggulu
  • Wansi
  • Munda
  • Wabweru
  • Wamberi
  • Nkoto n’ebirala.

Eby’okulabirako:

  • Omuyembe guwanike waggulu.
  • Omwana agudde wansi
  • Ebibbo bitwale munda.
  • Amaliba gafulumye wabweru.

Nakongezakikolwa Eziggumiza

Zino zibeera ziraga amaanyi, essira oba eddaala ekikolwa kwe kikolerwa. Okugeza:

  • Nnyo
  • Nnyo nnyini
  • Nnyini
  • Nnyo nnyini ddala.

Eby’okulabirako;

  • Bakutumidde nnyo.
  • Akwagala nnyo nnyini.
  • Tusiimye nnyo nnyini ddala.

Nakasigirwa

Nakasigirwa kitegeeza akagambo oba akayingo akayimirirawo ku lw’erinnya mu mboozi/sentensi. Nakasigirwa zirina ebika ebiwerako era nga mwe muli bino wammanga.

Ebika bya nakasigirwa

Nakasigirwa ez’obuntu

Zino ze nakasigirwa ezikozesebwa mu kifo ky’amannya ag’abantu. Mu zino mulimu nakasigirwa za bika bibiri: i) Ezeemala ii) eziteemala

Ka tuzirabire mu mweso guno wammanga. Omweso ogusooka gulaga nakasigirwa ez’obuntu ezeemala.

Omweso oguddako gulaga nakasigirwa ez’obuntu eziteemala.

Nakasigirwa ezeemala: zino zisobola okuyimirirawo ku bwazo ne ziwa amakulu agategeerekeka. Nakasigirwa eziteemala: zino zimala kuyungibwako kigambo kirala ne ziryoka ziwa amakulu. Era nga bw’olabye mu mweso ogwokubiri waggulu, nakasigirwa eziteemala, ziwandiikibwa nga ziragirwa nti buwango obuyungibwa ku ntandikwa y’ekigambo (prefixes).

Ebyokulabirako: Eziteemala

  • ndya mmere
  • osoma kitabo
  • agenda kujja

Ezeemala

  • Nze eyabbiddwa
  • Ggwe watutte omwana mu ddwaliro.
  • Omwana teyayise mmwe?

Nakasigirwa endazi

Zino ze nakasigirwa eziraga ebbanga eririwo wakati w’omuntu ayogera, ekyo ky’ayogerako wamu n’oyo gw’akigamba. Nakasigirwa zino ziragibwa n’obuyingo busatu:

Ekifo awali ekyogerwako Akayingo

  • kumpi n’ayogera kyokka wala n’oyo awuliriza -no (bano)
  • wala n’ayogera kyokka kumpi n’awuliriza -o (abo)
  • kiri wala w’abantu bano bombi(ayogera n’awuliriza) -li (bali)

Nakasigirwa ezibuuza

Zino zo zibeera zibuuza era nga sentensi mwe zibeera zikomekkerezebwa n’akabonero akabuuza (?); ne mu zino mulimu ezo ezeemala n’eziteemala.

Ezeemala:

  • ddi?
  • Ki?
  • wa?

Zino ziyitibwa zityo olw’ensonga nti zisobola okuyimirirawo ku bwazo ne ziwa amakulu agategeerekeka nga tezigattiddwa ku bigambo birala. Okugeza:

-Abadde akola ki? -Olikomawo ddi? -Wa gy’ogenda okubiggya?

Eziteemala: Zino ziyitibwa zityo olw’ensonga nti ziba zirina kusooka kugattibwako kigambo oba kayingo kalala okusobola okuwa amakulu agategeerekeka. Okugeza:

  • Omwana okubye waaki?
  • Abaana abayise wano baani?
  • Enkoko y’akabiika amagi ameka?
  • Amazzi g’okimye galiwa?
  • Nnakawere ali atya?

Nakasigirwa ez’obwannannyini

Zino ziraga obwannannyini omuntu bw’aba nabwo ku kintu oba omuntu. Zeeyolekera mu muntu asooka, owookubiri n’owookusatu, mu bumu ne mu bungi.

Nakasigirwa Entabaluganda

Zino ziteekawo oluganda wakati w’erinnya ekkozi oba erikolebwako mu mboozi. Zino zikyukakyuka n’ennyingo y’olubu erinnya mwe liba liri. Eby’okulabirako:

i)Enkozi (‘a’, ‘o’ , ‘e’)

  • Ekikopo ekyatise kinsaze.
  • Omwana alya musanyufu.
  • Omuddo ogukaze mubi

ii)Ezikolebwako Zino kuliko: ( bye, ke, kye, ze, lye, be, ge)

  • Ekitabo kye babbye kipya.
  • Omusaayi gwe baasanze mu kinaabiro muyitirivu.
  • Ente ze baleeta zaayonoonye ebirime.
  • Ettooke lye mulidde tto.

Nakasigirwa eziggumiza

Zino zongera amaanyi ku mukozi/akolebwako gwe ziba ziddiridde mu mboozi. Nazo zokyukakyuka okusinxiira ku lubu lw’erinnya eriba liri mu mboozi.

Eby’okulabirako

  • Nalule ye gwe banoonya.
  • Akambe ko ke basasiza.
  • Embwa yo ye ndalu.
  • Ebinsambwe byo bye balukisa.

Nakasigirwa ez’essira

Zino ziraga era n’okussa essira ku linnya eriba mu mboozi. Ziragibwa n’obuyingo bubiri –nna, ne –kka. Buno bwe bugattibwa ku nnakasigirwa okusobola okuwa amakulu.

Eby’okulabirako;

 

  • Ayise yekka yajja okusuumusibwa.
  • Abalwadde bonna baanirizibwa.
  • Abasajja bonna balimba.
  • Ebijanjaalo byonna byakooleddwa.

Nakasiba

Zino nazo zireetawo oluganda wakati w’erinnya n’ebigambo ebirala ebikozeseddwa mu mboozi. Nakasiba zimalawo okubuusabuusa mu mboozi. Mu zino mulimu: (bye, ke, kye, ze, lye, be, ge,…….)

Eby’okulabirako

  • Emiyembe gye balya.
  • Matooke ge batema.
  • Lusuku lwe balima.
  • Akataayi ke kasaze.
 

Courses

Featured Downloads